Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kirangiridde nti eggwanga lya Liberia liweddemu ekirwadde lya Ebola
Kiddiridde eggwanga lino obutafunayo mulwadde yenna mupya mu nnaku 42
Omukulembeze ali mu ntebe Ellen Johnson Sirleaf ategeezezza omukutu gwa BBC nti musanyufu nyi eggwanga lye libadde livudde ku bwerende
Abantu abasoba mu 4,700 beebafa ekirwadde kino mu Liberia era nga lino lyelyasinga okukosebwa
Yyo mu…
Eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Misiri Hosni Mubarak asibiddwa emyaka esatu ku misango gy’obuli bw’enguzi egibadde gimuvunaanibwa
Kiddiridde ono okuddamu okuwozesebwa mu kibuga ekikulu Cairo
Bbo batabani bwe basibiddwa emyaka ena buli omu ng’ogubavunaanibwa kwezibika obukadde bwa doola 14 ezaali ez’okuddabiriza olubiri lw’omukulembeze w’eggwanga.
Gino gy’emisango Mubaraka gy’abadde asigazza bukyanga avuunikibwa mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwaka 2011.
Abakwatammundu babiri balumbye ettendekero ly’ebyobusuubuzi mu kibuga Potiskum mu Nigeria
Abayizi mukaaga beebalumiziddwa mu bulumbaganyi buno obubaddemu amasasi okwesooza
Abasajja bano era babadde batambulira wamu n’omutujju abadde yesibyeeko bbomu nga yeebalulidde awasimba emmotoka
Tewali yewaanye kukola bulumbaganyi buno kyokka ng’obulumbaganyi bw’ekika kino butera kukolebwa aba Bokoharam
Abadde akulira olukiiko lw’ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF Ivan Kyayonka afudde.
Kyayonka afiiridde mu ggwanga lya Kenya gyeyaddusibwa oluvanyuma lw’embeera okutabuka
Ono nno era yakulemberako kkampuni ya VIVO energy emanyiddwa nga Shell okumala akabanga.
Yye amyuka amyuka akulira atwala kkampuni ya NSSF Geraldine SSali agambye nti baakoma okulaba omugenzi ku bbalaza ng’egenze okukola era nga taliiko mutawaana okutuuka ate…
Omusajja abadde yakamala emyaka munaana mu kkomera oluvanyuma lw’okusibwa amayisa kyaddaaki eyimbuddwa
Misanch Beyaka nga mutuuze ku kyaalo Myaniko e Bushenyi yasingisibwa omusango gw’obutemu kkooti ye Mbarara era n’asibwa mayisa mu mwaka gwa 2008.
Wabula olwaleero, abalamuzi abasatu abakkooti ejulirwaamu okubadde Remmy Kasule, Solomy Barungi Bbosa ne Kenneth Kakuru agambye nti omulamuzi we Mbarara yesigama ku bigambo…
Poliisi e Kayunga ekutte bannanyini loogi 10 n’abazibaddemu 22 nebalugenderamu nga babalanga kubeera bazzi ba misango
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro okukendeeza obuzzi bw’emisango
Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango Ayub Waiswa agamba nti bannanyini loogi zino balina okuwandiisa ba kasitoma baabwe tebataakoze ate bbo abantu beebasanze mu loogi zino abamu tebabaadde na biboogerako
Waiswa era agamba…
Eyali omuduumiza w’amaggye ga Uganda mu ggwanga lya Somalia Brigadier Michael Ondoga yejjerezeddwa emisango egibadde gimuvunanibwa.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi okujja enta mu misango egibadde kimuvunaanibwa.
Ondoga olwaleero abadde azze mu kkooti okusaba okweyimirirwa, kyokka bw’atuuse mu kooti omulamuzi n’amutegeeza nti emisango gyonna gimujjiddwaako.
Oludda oluwaabi lubadde lulumiriza Ondoga okuwa amawulire ag’obulimba ku Lt. Ali Muzoora eri omuduumizi…
Poliisi ye Kyazanga mu disitulikiti ye Lwengo eriko abafumbo b’ekutte lwakutulugunya muzukulu waabwe ow’emyaka 3.
Isa Ssekamate ne mukyalawe Justine Nyirakihiza abatuuze ku kyaalo Kanyogoga bebakwatiddwa oluvanyuma lwa muliraanwa okwekubira enduulu ku poliisi nga okutulugunya kususse.
Akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku kyalo Kanyongoga Gertrude Natoro agamba abafumbo bano omwana babadde bamusibira mu kasenge akamu awatali kumuwa…
Okugyako nga abawaabi ba gavumenti baweereddwa ebyetagisa mu kukola emirimu gyabwe, gavumenti yakumegebwa nyo mu misango egyenjawulo.
Kino kyasanguziddwa amyuka ssabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana agamba okuwulira emisango kulina ekiseera ekigere kale nga nga abalamuzi betaaga okwetegeka obulungi naye nga balina ebikozesebwa ebyetaagisa.
Rukutana agamba ensonga eno esaana okutunulwamu okusobola okutereera.
Abawaabi ba gavumenti baagala kwongerwayo obuwumbi obusoba…
Abatuuze ku kyalo Kaswa mu disitulikiti ye Luweero bakumye omuliro ku mulambo gw’omusajja gwebatebereza okutta mukyalawe ne muwalawe oluvanyuma naye neyetta.
Omulambo gwa John Nsigiriyarema Byaruhanga gusangiddwa abaana ababadde bagenze okukima amazzi ku bowa .
Kigambibwa nti omusajja ono yasoose kutta mukyalawe Rose Nanteza n’omwana mujja nanyina Marion Noreen ow’emyaka 16 era emirambo gyabwe n’agikumako omuliro.
Ssentebe w’egombolola…