Poliisi ya wano e Uganda ekwatagannye ne gavumenti ya Tanzania okukomyaawo omuduumizi w’abayeekera ba ADF eyakwatibwa mu ggwanga eryo.
Olunaku lwajjo gavumenti ya Tanzania yakakasizza nti omuntu gwebakwata ye Jamil Mukulu aludde ng’awenjebwa olw’ebikolwa by’obutujju
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bamaze okulagira Tanzania okutanidka ku mulimu gw’okuzza omukulu ono avunaanibwe
Enanga agambye nti ekibinja ekikulembeddwaamu omukulu…
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abazadde bangi bayigiriza abaana baabwe okunywa omwenge
Abaana ebitundu 34 ku kikumi bagamba nti omwenge baaguyiga bali waka
Bbo abaana abaweza ebitundu 81 ku kikumi bagamba nti bagula omwenge nga bakozesa ensimbi zebajja mu mikwano gyaabwe ate abalala bagamba nti banywa lwa kiwubaalo
Okunonyereza okwazudde bino kwakoleddwa aba Straight talk foundation mu distulikiti nnya…
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akatuze abantu 10 ku luguudo lwe Hoima Kasio- Tonya
Abagenzi kitegerekese nti batuuze okuva mu magombolola ge Kiziranfumbi,Kabwooya ne Buseruka nga byonna bisangibwa Hoima
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku motoka ya Isuzu Canter nama UAM 396V neyefuula.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lydia Tumushabe agambye nti emotoka eno yefuulidde…
Poliisi ye Kinoni mu disitulikiti ye Lwengo eriko omuvubuka wa mobile money ow’emyaka 22 gwekutte lwakusobya ku mwana ow’emyaka 14 nga asoma mu kibiina kya 6.
Kigambibwa nti Jawadu Ssebayinda y’asikambudde akawala kano nga kadda ewaka n’akaganzika mu kasiko n’akamalirako ekimiirimiiri.
Okusinziira ku maama w’omwana ono Rose Nayiga, tmuwalawe y’abadde agenze mu maka ga kojjawe amuyambe ku…
Poliisi etandise okunonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku yali akulira ekitongole ekisikiriza bamusigansimbi mu ggwanga Dr Maggie Kigozi.
Kigozi yalumbiddwa mu maka ge e Kakeeka Rubaga nga bano bayise mu ngalama( Ceiling) okutuuka munda mu nyumba
Omukyala ono enkya ya leero awereddwa ekitanda ku Nakasero Hospital era abasawo nebamwekebejja n'oluvanyuma nebamusiibula
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye…
Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe alayizza abalamuzi b’eddaala erisooka 8 ku kkooti enkulu wano mu Kampala.
Nga amaze okubalayiza, abalabudde obutaba ba myoyo mitono nga balya enguzi era n’abakubiriza okubeera abenkanya nga basala emisango.
Ssabalamuzi era aliko ebyuma mi kalimagezi ebyomungalo 47 by’awadde abalamuzi abakulu okwewala abantu okusomola ensala y’emisango gyabwe nga tebanagiyisa.
Katureebe ategegezza abalamuzi baakuyambibwa okunonyereza ku…
Omuwandiisi wa kkooti enkulu akoze enkyukakyuka mu balamuzi nga era abalamuzi 31 n’abawandiisi ba kkooti bakyusiddwa.
Abadde omuwandiisi wa kkooti enkulu Roy Byaruhanga asuulidwa n’asikizibwa Tom Chemutai abadde akola nga omuwandiisi mu kkooti yokuntikko.
Deo Nizeyimana asiddwa eddaala okuva ku muwandiisi wa kkooti ejulirwamu n’azzibwa ku ky’obulambuzi bw’amakkooti n’asikizibwa Amos Kwizera.
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda…
Waliwo ababundabunda abalala abafiiridde ku lyaato ku ssemayanja wa Mediterranean.
Ekibiina ekya Save the children bagamba nti abantu abali mu 137 beebagambibwa okubeera nga bali ku lyaato lino era nga bonna kigambibwa nti bafudde
Ab’ekibiina kino bagamb nti kubaddeko abantu 40 ababadde basumattuse kyokka nga bafudde eryaato eribadde lisindikiddwa okubataasa terinnatuuka
Bino bigenze okubaawo ng’abantu 1,750 abalala beebakafiira…
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Ngora oluvanyuma lw’omubalirizi w’ebitabo ku ssomero lya Ngora High School okwewa obutwa n’afa.
Mutabani w’omuganda w’omugenzi Charles Eotu agamba nti yadde nga okunonyereza okusoose kulaze nga bweyafudde obutwa, abadde n’ekirwadde kya sukaali ekibadde kimubala embiriizi.
Akulira essomero lya Ngora High School, Martin Okiria agamba omugenzi yandiba nga yejje mu budde olwapoliisi okumuggalira ennaku…
Poliisi ye kiboga eri mu kunonyereza ku kyaviiriddeko omuliro okukwata enkambi yaayo ebintu byabukadde nebisaanawo.
Omuliro guno kigambibwa nti gwatandise ekiro ekikeesezza negusaasana negukwata enyumba ssatu buli kyabaddemu nekifuuka vvu.
Ab’erabiddeko bagamba omuliro guno tegwandisaasanyenyo wabula poliisi ezikiriza omuliro y’atuuse kikeerezi nga paawo kyebaatasizza.
Abamu ku baserikale ba poliisi abafiiriddwa ebyabwe kuliko Daniel Rukenge, Dominic Ssuna ne Issac…