Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Kagina yeweeredde abalya enguzi

Akulira ekitongole ky’ebyenguudo  mu ggwanga omujja  Allen Kagina aweze okufaafagana n’abali b’enguzi mu kitongole kino .   Agamba wakwekenenya obulyake obwabuli kika mu kitongole kino n’okusingira ddala mu kugula n’okutunda ebintu mu kitongole kino.   Kagina era wakutunula mu bitabo ebyabalibwa okulaba abo boona abazze bemoolera ku nsimbi ezitali zaabwe era n’alabula n’abo bonna abali ku muinzaani ez’enjawulo okufuba…

Read More

Endoliito mu DP zikyalanda- ofiisi e Masaka ziggaddwa

Endoolito mu kibiina kya DP ssizakugwa kati. Ssentebe w’ekibiina kino e Masaka Fred Mukasa Mbidde kati alagidde ofiisi z’ekibiina ziggalwe lwankaayana munda mu kibiina kino. Kino kiddiridde akavuyo akaabadde ku ofiisi eno oluvanyuma lw’okusazibwamu kw’okulonda kw’obukiiko bw’ekibiina ku byalo mu gombolola ze Kimaanya ne Kyabakuza ku bigambibwa nti kwabaddemu okubbira. Abamu ku bannakibiina nga bakulembeddwamu  Brenda Nambirige, Nalubyayi…

Read More

Okukebera enkalala kwongezeddwaayo nate

Okukebera emkalala z’okulonda kwongezeddwaayo okutuuka nga 11 omwezi ogujja Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku budde obubadde obutono era mu bitundu ebiwera abantu basigadde ku nkalala Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti kino bakikoze kubanga nabo basiibye mu bifo ebyanjawulo ng’abantu bayitirivu Okukebera amannya ku nkalala z’abalonzi okubadde kugenda mu maaso kufundikiddwa Kino kibaddewo wakati mu kwemulugunya okuva…

Read More

Babiri battiddwa e Burundi

Abantu abalala babiri battiddwa mu kwekalakaasa okugenda mu maaso mu ggwanga lya Burundi. Abeekalakaasa bawakanya eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo ekisanja eky’okusatu. Abaddukirize aba Redcross bamaze okujjawo emirambo gyaabwe kyokka ng’ababadde bagamba nti poliisi y’esse abantu bano. Okwekalakaasa kuno kwatandika kwa kimpowooze ku bbalaza ng’abeekalakaasi balumba poliisi n’amayinja

Read More

Aba FDc bagobye Sejusa

Ab’ekibiina kya FDC balangiridde nga bwebatajja kukkiriza nkolagana yonna n’eyali akulira ba mbega ba gavumenti Gen David Ssejusa. Ssejusa yali yawandiikira aba FDC ng’asaba okubasisinkana bateese ku ngeri y’okukwataganamu okuwangula okulonda kwa 2016 era nga kino yakikozedda eri DP UPC ne Jeema Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti ng’ekibiina basazeewo obutakolagana ne Ssejusa oba munnamaggye yenna…

Read More

Owa M23 akwatiddwa

Poliisi e Mubende ekute agambibwa okubeera omuyekeera w’ekibinja kya M-23 nga bano bebazze balumba eggwanga lya Congo. Ono asangiddwa  mu kitundu kye Lusaalira mu gombolora ye Kibalinga ng'asangiddwa n'ebyambaalo by'amaggye ga M-23 n'ekibundu kimagezi maganda. Ono ategerekese nga Emmanuel Hakuzimana ng'aweza emyaka 17 nga era okugombwamu obwala kigambibwa nti abadde anonye mmere mu bitundu by'e Lusaalira okugitwalira…

Read More

Olukiiko lw’abasikawutu lwakutuula Uganda

Uganda yakutegeka olukungaana lwabasikawutu mu nsi yonna olumanyiddwa nga  Jamboree wali e  Kaazi mu August w’omwaka guno. Byonna byakutandika nga 18 nga era omuyima w’abasikawutu mu nsi yonna kabaka w’eggwanga lya Sweden naye wakulwetabamu. Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, minisita w’ekikula ky’abantu Muruuli Mukasa ategezezza nga abavubuka abasoba mu r 30,000 bwebasuubirwa okulwetabamu nga era baakuganyulwamu nyo kubanga…

Read More

Gavumenti erumbye bannakyeewa ku buseegu

Gavumenti enenyezza ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu olwokulemererwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga.   Minisita omubeezi ow’empisa n’obuntumulamu  Rev. Father Simon Lokodo agamba ebibiina bino biremesezza gavumenti okulwanyisa  abalenga akaboozi abamu ku basaasanya obuseegu.   Bino Lokodo abyogedde asisinkanyemu ababaka ba palamenti y’eggwanga lya Tanzania abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za siriimu wali ku kitebe ky’akakiiko akalwanyisa siriimu wano mu…

Read More

Omuzaana azadde omumbejja

Omuzaana Kate, mukyala w’Omulangira William ow’e Bungereza kyaddaaki azadde omwana owookubiri. Kate akubyewo Mumbejja. Kate, eyafumbirwa Omulangira mu April 2011, yasooka kuzaala mwana wa bulenzi, Omulangira George mu ddwaaliro lye limu ly'azaaliddemu erya St. Mary's Hospital wakati mu kibuga London mu July wa 2013.

Read More