Abakulembeze b’amawanga ga East Africa basabye wabeewo okuyimiriza okulonda mu ggwanga lya Burundi
Abakulembeze bano abasisinkanye mu Tanzania bagamba nti embeera eri mu Burundi tesobozesa kulonda kyokka nga bagamba okwongezaayo tekulina kusukka gavumenti eriko w’ebadde erina kukoma
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa abakulembeze bano, mwebayise okuvumirira ebiri e Burundi nebasaba ekisoboka kikolebwe okuzza emirembe mu ggwanga lino
Bano era basabye…
Poliisi e Soroti etandise okunonyereza ku musibe asangiddwa mu kadukuulu ng’afudde
Michael Egimu Sunday asangiddwa ng’alina olugoye mu bulago era nga kiteberezebwa nti yeetuze
Ssentebe w’ekitundu ky’obuvanjuba mu municipaali eno Paul Omer agambye nti bagaala kunonyereza kuzuula oba ddala omugenzi yesse oba waliwo abamutuze.
Wabula bbo ab’enganda z’omusajja ono bagamba nti baakomye okumulaba nga mulamu bulungi nga taliiko…
Kampala Capital city Authority erangiridde nga oluguudo lwa Luwum bwerugenda okufuulibwa olw’okutundirako ebintu buli lwa ssande.
Akatale kano kakutandika nga ku ssaawa kkumi n’emu ey’okumakya kaggalwe kkumi n’emu eya kawungeezi
Atwala eby’emirimu n’empereeza mu KCCA Harriet Mudondo agambye nti kino bakikoze kumalawo muze gwa butembeeyi nga kati bano baweereddwa obudde okutunda ebyaabwe
Mudondo wabula agamba nti buli musuubuzi…
Ekibiina ekitaba bannamateeka kyagaala eby’abakyala okuba n’abakiise ku buli disitulikiti biveewo kko n’abakiise n’amaggye.
Bano babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka akakungaanya ebirowoozo ku nongosereza mu ssemateeka
Akulira ekibiina kino Kalooli Ssemwogerere agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza ku ku bungi bw’ababaka mu palamenti
Ekirowooza kyaabwe kiri nti abakiise b’abakyala babe nga bali ku bitundu…
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago akwatiddwa nga ye eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC l Dr. Kizza Besigye bulekidawuni emusikidde mu mmotokaye gy’alemeddemu.
Gyebuvuddeko poliisi erinye eggere mu lukungaana lw’abannabyabufuzi abavuganya gavumenti olubadde lugendereddwamu okukubaganya ebirowoozo ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Mu kiseera kino Besigye ku poliisi ya Jinja road ate Lukwago ku ye Katwe
ye aduumira poliisi…
Oluvanyuma lwa gavumenti okwanja enongosereza zaayo mu ssemateeka eri palamenti , ab’oludda oluvuganya gavumenti nabo banjizza ezaabwe eri akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka.
Kino kiddiridde amyuka sipiika wa palamenti okutegeeza nti buli awulira nti ebirowoozo bye tebyabadde mu nongosereza ezaayanjiddwa gavumenti waddembe okuwa ebirowoozo eri akakiiko ka palamenti kano ak’ebyamateeka.
Okusinziira ku ssabawolereza wa gavumenti yekisiikirize Abdul katuntu,mpawo…
Abasomesa balangiridde akediimo okwetoloola eggwanga lyonna okutandika olunaku olwaleero..
Bano nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina ekibataba mu ggwanga James Tweheyo bategezezza nga gavumenti ne minisitule y’ebyenjigiriza bwebalemereddwa okutuukiriza ebisuubizo byabwe.
Ku bino kuliko okubongeza omusaala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja n’ebitundu 10% ssaako n’okulemera obuwumbi bwabwe 25 obwabaweebwa omukulembeze w’eggwanga okwekulakulanya.
Agava mu Burundi galaga nga bwekirangiridwa nti omukulembeze w'eggwanga lino Pierre Nkurunziza ne gavumenti ye bavunikiddwa
Omu ku bakulu mu maggye Godefroid Niyombareh ategeezezza bannamawulire nti akavuyo kaweddewo, era nga bakozeewo n’akakiiko akeetongodde kebatuumye National salvation committee okugira nga kafuga eggwanga lino.
Kaakano emikutu gyamawulire gyonna mu ggwanga lino gyogeraku kuvuunikibwa gwa gavumenti era nga okucacanca kulabiddwako…
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM alabudde bannakibiina abamegebwa mu kamyufu oluvanyuma nebesimbawo nga abatalina kibiina.
Mukyala Justine Kasule Lumumba okulabula kuno yakuyisizza atongoza okuwandiisa bannakibiina wali e Masaka ku woteeri ya Garden Courts e Masaka.
Lumumba agamba baakuteesa emikono ku ndagaano abantu bonna abegnda okwesimbawo mu kamyufu nga teri kwesimbawo nga abatalina kibiina nga bawanguddwa.
Lumumba era y’alabudde abakukulembeze…
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao embeera ye eyongedde okutabuka ey’ebobulamu nga kati awereddwa e Kitanda.
Mao ajjanjabibwa ku ddwaliro lya International Hospital Kampala gyeyawereddwa ekitanda yadde nga yabadde agenze kumukeberako.
Wabula ssabawandiisi wa DP Mathis Nsubuga agamba nti embeera ssi mbi biri awo era nga wakusiibulwa.