Bya Ivan Ssenabulya
Munna DP era eyavuganya ku kifo kyomubaka omukyala mu district ye Mukono mu kulonda kwa 2016 Hanifah Nabukeera kigambibwa nti bamusanze adduka mu nnyumba oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa obukadde 7.
Okusinziira ku landlord Haj. Umar Ddumba bamusanze atikka ebintu ku mmotoka, agende song abanjibwa.
Agambye nti abadde amubanjidde omwaka mulamba, ngamusubiza ssente jjo ne…
Bya Benjamin Jumbe, Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule y’e by’entambula Bageya Waiswa akakasizza nga ennyonyi empya ebbiri eza Uganda Airlines CRJ900 zaakutusibwa kuno ku bbalaza ya ssabiiti ejja nga 7 omwezi guno.
Ennyonyi zino zakwasibwa gavumenti ssabiiti ewedde e Mirabel,mu Canada.
Kati singa zino zitusibwa kino kyafula omuwendo gwennyonyi nya ezakagulibwa nga ezasooka zatuuka kuno mu mwezi ogw’okuna …
Bya Prossy Kisakye, Bannauganda ekitundu kimu kyakuna bali mu katyabaga ak’okukwatibwa endwade ez’ekuusa ku mutima.
Abakugu mu by’obulamu balabudde ku kirwadde ky’omutima kyandyeyongera mu biseera eby’omaaso
Okulabula kuno kukoledwa akulira edwaliro ly’emitima mu ggwanga, Dr.John Omagino wakati nga egwanga lyetegekera ebikujjuko by’okukuza olunaku lwe birwadde bye mitima munsi yonna olugenda okukuzibwa nga 4 omwezi gwe 10.
Dr. Omagino…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Namayingo eriko omusajja owemyaka 55 gwegalidde ku misango gyokusobya ku mukazi owemyaka 34.
Omukwate mutuuze ku kyalo Bwania mu gombolola ye Buhemba e Namayingo.
Okusinziira ku batuuze musajja mukulu ono, omukazi yaamusanze mu nnimiro ngalima namumalirako ejakirizi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubiakakasizza okukwatibwa kwomusajja ono.
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko kebyokulonda kongedde okukakasa nti okulond okwokujuza ekifo kyomubaka omukyala owa district ye Hoima, kwali kwa mirembe era mu mazima nobwenkanya.
Bino webijidde ngaboludda oluvuganya gavumenti bangi bemulugunya nti okulonda kwlaimu vvulugu atabangawo, nokubba obululu ebitagambika.
Wabula ssentebbe wakakiiko kebyokulonda mu gwanga, omulamuzi Simon Byabakamaategezezza banamawulire agambye nti waddenga waliwo obululu, bwebawaa nga butikinge, mu…
Bya Benjamin Jumbe
Kamisona avunanyizibwa ku nkyukkyuka y’obudde mu ministry y’obutonde bwensi, Chebet Maikut afudde.
Maikut afiridd mu ddwaliro mu district ye Kapchorwa, gyebabadde bamututte okujanjabibwa ekimbe.
Minister omubeezi owobutonde bwensi Dr Mary Goretti Kitutuyaksisizza okufa kwaChebet Maikut, era agambye nti entekateeka zigenda mu maaso omulambo okugujjayo baguleete mu ddwaliro ekkulu e Mbale okwongera okwekebejebwa.
Ategezezza nti ddala egwanga…
Bya Damali Mukhaye, Abakungu abalondola enkola y’okusomesa abayizi eri kumutindo eyayisibwa minisitule y’eby’enjigiriza mu mwezi gwo 7 omwaka guno bategeezezza nga bwe waliiwo akasoobo mu kuyiga kw’abayizi mu disitulikiti y’e Yumbe.
Annet Nannyombi, omuvugirizi wa Twaweza East Africa ategeezezza nga bwe baali tebanatongoza nkola eno abayizi abasinga mu kibiina eky’okuna baali tebasobola kusoma bigambo ebimu ,kwossa…
Bya Juliet Nalwoga, Gavumenti etegeezezza nga essuubi lyaayo okufuuka eggwanga eriri yaddeyaddeko wetunatukira mu mwaka 2040 litandise okweyoleka.
Okusinzira ku minisita w’ensonga z’omukulembezze w’eggwanga Esther Mbayo enkulakulana y’eggwanga eri ku bitundu 6.3%omwaka gw’ebyensimbi 2018/2019,okuva ku bitundu 6.1% bwe gwali omwaka 2017/2018 ekyeyoleka nti Uganda yakutuuka ku kirooto kyayo
Minisita Mbayo abadde ayogerako eri bannamawulire ku ssengejjero lya…
Bya Prossy Kisakye, ne Ivan Ssenabulya, Aba Dmocratic Party Bloc bakungubagidde eyaliko omumyuka w’omukulembeze w'ekibiina ekivuganya Gavumenti ekya Uganda People's Congress Joseph Bbosa eyafiiridde mu ggwanga lya Netherlands.
Omugenzi wafiiridde nga aweza egy’obukulu 70.
Bbosa era y'e Mwami w'omulamuzi Solome Balungi Bbosa ali mu Kkooti yensi yonna ewozesa egyannagomola.
Mu kwogerako eri bannamawuliire ku kitebe ky’ekibiina kya Dp…
Bya Ruth Anderah, Kkooti ya Buganda Road olwaleero lw'etandise okuwulira omusango Munnabyamizannyo era omuwagizi wa tiimu ya Uganda Cranes lukulwe, Jackson Ssewanyana amannyiddwa nga Uncle Money mwavunanibwa ogw'okutta omuntu mu butali bugenderevu.
Uncle Money nga y’amyuka ssentebe w'ekyalo kya Kasubi Zone 4, yasindikibwa e Luzira ne Benson Ssenyonga ng'ono ye difensi w'ekyalo oluvannyuma lw'okuggulwako omusango gw'okutta…
