Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Okuwandiisa abeegatta ku maggye kuggwa leero

File Photo:Aba Updf nga babatendeeka Okuwandiisa abaagala okwegatta ku magye kukomekerezebwa leero. Aba UPDF bagamba nti baagala abajaasi 3000 abakugu saako n;abalala okwongera ku ggye ly’eggwanga. Kuluno abadde talina ndagamuntu abadde tawandiisibwa kubanga zibadde zikozesebwa nga obukakafu nti ddala omuntu munnayuganda. Wabula mu bitundu ebimu ebikumin’ebikumi ab’ababadde bagenze okuwandisibwa bagobeddwa lwabutatukiriza bisanyizo nga abamu tebalina biwandiiko byetagisa sso nga…

Read More

Obuwumbi 18 bwakuddabiriza Namugongo

File Photo: Abalamazi nga bali e namugongo Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alagidde gavumenti okuwaayo mangu obuwumbi 18 eri okuddabiriza ekiggwa ky’abajulizi nga eggwanga lyetegekera okukyala kwa papa omwezi ogujja. Kino kiddiridde abakugu abavudde e Vatican okutegeeza nga omulimu bwegwabadde gutambula akasobo olw’ensimbi entono. Kino kyawaliriza pulezidenti Museveni okugenda okulambula emirimu nga 3 October 2015 n’akizuula nti ddala buli…

Read More

Banka ya Imperial etwaliddwa Banka y’eggwanga

Banka y’eggwanga enkulu yedizza emirimu gya banka ya Imperial Bank Uganda Ltd okuva kati. Kino kiddiridde banka ya Kenya enkulu okwediza ettabi lya banka eno ekkulu mu Kenya okumala omwaka mulamba  lwamirimu butatambula bulungi . Ssenkulu wa banka enkulu eyakuno  Tumusiime Mutebile  ategezezza nga bwebatagadde banka eno okulaba nga bannayuganda tebafiirwa nsimbi zaabwe . Tumisiime ategezezza nga banka…

Read More

Uchumi ye Gulu eggaddwa

File Photo: Uchumi supamaketi eye Gulu Abakozi ba supamaketi ya Uchumi e Gulu abasoba mu 90 bakonkomaliridde ku mulyango oluvanyuma lw’okusanga nga webakolera bagaddewo nga n’ebyokwerinda binywezeddwa. Omu ku bakozi Isaac Okello ategezezza nga nabo bwekibabuuseko okusanga omuggalo nga mpawo kyabategezeddwa. Bino okubaawo nga aba kampuni enunzi y’enkoko eya  Ugachick kyejje  eragile  bawanyondo ba kkooti nebalumba ettabi ekkulu…

Read More

Byandala bamukunyizza- ayanukudde

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Eyali minisita w’ebyenguudo  Abraham Byandaala akakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kamukunyizza ku luguudo olwazimbibwa okuva e Tororo okuyita e Mbale okutukira ddala e Soroti. Minisita akunyiziddwa lwaki y’alagira obugazi bw’oluguudo luno bukendezebwe okuva ku mita 9 okudda ku mita 6 zokka. Byandala era bamulumiriza okusuula muguluka kampuni…

Read More

Aba NRM batabuse- balumbye ekitebe

File photo: Owe byokulonda mu NRM Waliwo ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM okuva mu massekati ga Kampala abalumbye ekitebe ky’ekibiina nga baagala okulonda kw’akamyufu kusazibweemu olw’emivuyo egyetobese mu kulonda. Bano bawagizi ba kansala womu Kisenyi Salim Uhuru nga balumiriza Ahmed Kibedi eyesimbye ku Muntu waabwe okuvuluga okulonda. Bano kati baagala  akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kyabwe kasazemu ebivudde mu kulonda…

Read More

Omubaka Kafeero aleese obujulizi nti yasoma

Omubaka wa Nakifuma steven Kafeero olunaku olwalero akwanze akakiiko akavunanyizibwa ku kulonda mu kibiina kya NRM empapula ze  ez’obuyigirize  endala. Ssekitoleko yagobwa mu kamyufu ka NRM ngalangibwa obutaba n’ampapula za siniya 4 ne siniya 6, wabula oluvanyuma kooti enkulu e Jinja, neragira addizibwe mulwokaano. Kafeero agambye nti akakiiko kamulagira agende mu kitongole ekivunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu okukakasa…

Read More

Ba kifeesi babakubye amasasi

Abateberezebwa okuba nti beebatigomya abantu be makindye bakubiddwa amasasi agabalese nga bapookya. Musa Katumba ow’emyaka 29 ne Akiramu Kazibwe owe myaka 19 nga bagambibwa okubeera ku kibinja kya bakifeesi ekitigomya Bannakampala naddala abatuuze be Nabisalu mu divizoni ye Makindye Bano okkubwa amasasi basangiddwa baliko amaka g’omutuuze gebanyagulula bwatyo omukuumi nababakuba amasaasi mu magulu ne mikono. Mu kanyolagaano kano…

Read More

Temutwala byabufuzi mu masomero- Minisita alabudde

Minisita omubeezi owebyenjigiriza nemizannyo John Creztom Muyingo alabudde ku byobufuzi obutatwalibwa mu masomero nokwawula mu bantu, kuba kyakutataganya ensoma yabaana. Agambye abagala obululu mu basomesa babalinde wabweru gyebasula so ssi kuzungira mu masomero. Asinzidde ku Mukono Boarding P/S omukolo aba USAID kwebatongolezza engombo ya ‘Safer Schools, Better Reading’ egendereddwamu okutekawo embeera ennungi abaana okuyiga okusoma nga bakyali…

Read More

Omusomesa asse omuyizi

Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eriko omusomesa wa myaka 23 gw’ekutte ng’ono ogumulangibwa kutta muyizi gw’asomesa Patrick Kyakuline ng’asomesa ku ssomero lya St Paul Nakabale primary school kigambibwa okuba  nga yatulugunyizza omuyizi w’ekibiina ky’omusanvu okukkakkana ng’amusse Atwala okunonyereza ku misango ku poliisi ye Luuka David Agii agambye nti omuyizi attiddwa ye as Stuart Matende wa myaka 15…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play