Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Laddu esse

File Photo: Laddu esse abantu Ekikangabwa kibutikidde abatuuze ku kyalo Kisolo-Naluwondwa mu gomboloola ye Madudu e Mubende Laddu bwekubye ab'oluganda 3 babiri ne bafirawo. Abagenzi mu kiseera kino tebanaba kutegerekeka manya gabwe wabula nga batabani ba Kiberu Eria nga bano Laddu okubakuba ebasanze wabweru mu nkuba ebadde etonya nga ntonotono ate nga munabwe ye adusidwa mu kalwaliro…

Read More

Besigye akwatiddwa

File Besigye nga alwanagana ne police Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti  Dr. Kiiza Besigye akwatiddwa. Besigye akwatiddwa nga ava mu maka ge wali e Kasangati okugenda okukuba enkungaana mu bitundu ebyenjawulo. Atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama   Nga tannakwatibwa Besigye yemulugunyizza nga eddembe lye nga munnayuganda bweririnyiriddwa

Read More

Eyasingisibwa ogw’obuyekeera ayimbudddwa

File Photo:Capt. Amon Byarugaba eyasonyiyidwa Omu ku baasingisibwa omusango gw’okubeera omuyeekera wa PRA Capt. Amon Byarugaba kyaddaaki eyimbuddwa. Byarugaba amazeeyo ekibonerezo ekyamuweebwa eky’emyezi omukaaga oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’obutujju n’okwetaba mu kuyekeera gavumenti ya NRM. Ayimbuddwa okuva mu kkomera lye Kigo okudda ewaka ng’awerekeddwaako munnamateeka we Radislaus Rwakafuuzi. Byarugaba yali avunaanibwa wamu n’abantu 22 okwaali ne Dr Kiiza Besigye. Ono bamukwatira…

Read More

Kkolera asse mukaaga e Hoima

File Photo: Omulwadde wa kolera Ekirwadde kya  cholera kyakatta abantu 6 mu gombolola ye  Kabwooya mu disitulikiti ye Hoima . Ekirwadde kino kati kisasanidde ne mu gombolola ye Buseruka nga eno 89 bali ku ndiri. Okusinga Cholera alumbye babeera kumpi n’embalama z’enyanja Albert. Alondoola eby’obulamu mu disitulikiti eno  Fred Kugonza  ategezezza nga abasatu bwebabadde ku mwalo gwe Nkondo sso…

Read More

Abambala enkunamyo bakwatibwa

File Photo: Abakazi nga bambadde obugooye obumpi Abakyala mu disitulikiti ye Moroto balabuddwa nti bakukwatibwa singa basangibwa nga bambadde enkunamyo wamu n’abo abatambuliza embuto ebweru. Aduumira poliisi ye Moroto Richard Aruku Maruk y’akoze okulabuloa kuno oluvanyuma lw’ekikwekweto ku bamalaaya mu nkuubo ez’enjawulo gyebatwala bakasitooma baabwe. Ategezezza nga abakyala abambala mini bwebakema abasajja okubatuusako ogwabuliisa maanyi kale nga kati…

Read More

Ofiisi za NRM zookyeddwa

File Photo: ebipande bya besimbye wo ku office za Nrm Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule bookezza ofiisi y’ekibiina kya disitulikiti mwebabadde babalira obululu bw’akamyufu k’ekibiina. Kino kiddiridde okulangirira Fred Kalakule ku buwanguzi olwo abawagizi ba  Benon Bulora gwebawangudde  nebalumba ofiisi nebazitekera omuliro. Abawagizi Bulora okuva mu mbeera kyaddiridde aba  Fred Kalakule  nga era ye ssentebe…

Read More

Teri Kampeyini- Akakiiko akalondesa

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekatagenda kukkiriza yesimbyewo yenna ku bwapulezidenti kukuba nkungaana nga ebiseera bya kampeyini ebitongole tebinatuuka. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu ategezezza nga amateeka ga kampeyini bwegali amalambulukufu kale nga abesimbyewo basaanye okugagoberera. Kino kizze wakayita mbale poliisi kyejje erinye eggere mu lukungaana akwatidde FDC bendera Kiiza Besigye…

Read More

Mbabazi akyaali mugumu ku Bukenya

File Photo : Bukenya nga bamusitudde Eyali ssabaminisita w’eggwanga  John Patrick Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ekya Prof Gilbert Bukenya okuddayo ewa pulezidenti Museveni  kyatutengula bannayuganda obutamwesiga mu kawefube gw’aliko okwesibawo ku bwapulezidenti. Bukenya y’alangiridde nga bw’agenda okuwagira pulezidenti Museveni n’alumiriza oludda oluvganya gavumenti obutaba nakigendererwa. Omwogezi w’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance Michael Mabikke…

Read More

Abakyala beediimye- abavuganya bawanda muliro

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu alabudde gavumenti ku kusindikiriza ennyo abavuganya. Oguttu agamba nti banditendewalirwa nebatandika okwerwanako. Wafula agambye nti keekadde gavumeti erekere awo okukozesa etteeka ku nkungaana okulemesa emirimu gyaabwe Ono agamba nti ekibiina kya FDC kiriwo mu mateeka era kirina okukola emirimu gyaakyo ng’amateeka bwegalagira Bino bibadde mu kiwandiiko kye ky’asomye mu palamenti olw’eggulo lwaleero…

Read More

Aba DP mu Buganda ba Mbabazi

Eyali ssentebe wa DP Damiano Lubega akunze bannakibiina kya DP okuwagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga Mu Lukiiko olutudde ku Sharing Hall e Nsambya, Lubega agambye nti mu byobufuzi temuba mulabe wa lubereera nga mu kadde kano Mbabazi ye mutuufu. Olukiiko luno lwategekeddwa omubaka Betty Nambooze era nga kisuubirwa nti aba DP mu Buganda mwebasuubira okuyita okulangirira…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play