Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Akabenje e Mityana- bataano balumiziddwa

File Photo: Owabooda nga ataddeko asimattuse akabenje Abantu 5 bawereddwa ebitanda  mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okusimattuka akabenje akabalese nga bamenyese. Bano bonna nga batuuze be Buwalula mu disitulikiti ye Mityana  bategerekeseeko amannya gaabwe nga Joseph Ssekitto,Henry Ssebandeke,Joseph Katalame,Frank Lubulwa n’omugoba w’ekimotoka ekyaakoze akabenje Wasswa Lutaaya. Kitegerekese nti ekimotoka ekyabadde kitisse amayinja kyalemeredde omugoba waakyo bwekityo nekyefuula olwo…

Read More

Eyayokya munne bamuwenja

File photo: polisi nga eyogeerako eri abantu Poliisi mu bitundu bye Kitintale  etandise omuyiggo gwakali butemu Jenifer Nekese eyayiira muggya we amafuta n’amukoleeza Omukyala ono etayokebwa yafa ssaabbiiti ewedde kyokka nga bassalumanya abalugenderamu bakyaali ddala bubi mu ddwaliro e Mulago. Abaalumizibwa nga bonna bakyali mu kifo awatekebwa abayi kuliko Rahmah Birabwa,Eddie Musoke, ne Avarap Manyi Byaruhanga . Bw’abadde agenzeeko…

Read More

Aba DP bakutuula

File Photo: Aba Democratic Party Abakulembeze ba DP abaalondeddwa bayitiddwa okwesogga akafubo okuteesa ku ngeri y’okutwalamu ekibiina mu maaso. Ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao agambye nti essira bakulissa ku ngeri y’okugattamu ekibiina okumalawo entalo, okunyweeza ekiwayi ky’abavubuka kko n’eky’abakyala. Kyokka ate Mao ategeezezza ng’abo abeekutudde ku bukulembeze bwe bwebatajja kulemesa kibiina kugenda mu maaso. Asabye Lukwago okulekera awo okukolera…

Read More

Nantaba ajjeeyo foomu

File Photo: Minisita Nantaba Bannakibiina kya NRM abagaala okwesimbawo ku bifo ebitali bimu bakyagenda mu maaso n’okukimayo foomu ng’olwaleero minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidha Nantaba y’omu ku bajjeeyo foomu. Nantaba nga ye mubaka we Kayunga omukyala ayagala kudda ku kifo kino Abalala abajjeeyo foomu kuliko omubaka we Kyamuswa Tim Lwanga ng’ono ayagala kubeera ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala. Abalala kuliko…

Read More

Abatujju amasimu bagagula ku Majestic Plaza- musuubuzi

  File Photo: Ekizimbe ekiteberezebwa okuba nga abatujju bakikoozesa Kizuuliddwa olwaleero nti essimu ebbiri ezaakozesebwa okubalula bbomu mu Kampala zagulibwa okuva ku kizimbe kya Majestic Plaza wano mu Kampala Zino zaagulwa ng’ebula ennaku bbiri , bbomu zino zitegebwe Bino byogedde omutunzi w’amasimu ku kizimbe kino Joseph Makubuya ng’ono yeeyatunda amasimu gano eri Hassan Haruna Luyima era ng’agamba nti omusajja…

Read More

Minisita Byandala asindikiddwa e Luzira

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo Eyali minisita w'ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala olwaleero asula Luzira Byandala asindikiddwa mu kkomera okutuuka nga 11 omwezi ogujja w’anaddira okusaba okweyimirirwa. Ono nno eyayitiddwa ku ofiisi ya kaliisoliiso okunyonyola ku bikwatagana n’oluguudo lwe Mukono Katosi, tazze waka nga bweyabadde asuubira, bw’atwaliddwa butereevu mu kkooti ewozesa abakenuzi. Asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Julius…

Read More

Obama akolokose aberemeza mu buyinza

Omukulembeze w’eggwanga lya America Barack Obama akolokose abakulembeze mu Africa abagufudde omuze okumaamira obuyinza. Obama abadde ayogerako eri abakulembeze ba Africa okuva mu mawanga 54 abakungaanidde mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia. Ono agambye nti kikwasa ennaku okulaba nti ate abalina ssente beebasinga okukola kino ng’abamu batuuka n’okukyusa mu mateeka okwekkusa. Awadde eky’okulabirako kya Burundi gy’agambye nti obutabanguko…

Read More

Etteeka ku sigala liyise

Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka eryongera okukaliga abafuuwa sigala. Ebbago lino kuva mu mwaka gwa 2013 nga litudde. Etteeka eriyisiddwa liragira abanywa sigala okwewala ebifo byonna eby’olukale nga balina okulekawo mita 50 Abantu abatannaba kuweza myaka 21 tebalina kunywa sigala. Ebipapula ebibaamu sigala byakubaako ebiwandiiko ebinene ebirabula abantu nti sigala wabulabe era nga teri kumussa ku masa agatuukirwaako mu maduuka…

Read More

Minisita Byandala akwatiddwa

Eyali minisita w'ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala akwatiddwa. Byandaala akwatiddwa ku byekuusa ku luguudo lwe Mukono Katosi olwavulugibwa nga kati agenda kuggulwaako misango gya bukenuzi. Omwogezi wa wofiisi wa Kaliisoliiso Ali Muniira akakasizza okukwatibwa kwa Byandala n'ategeeza nti ono baamuyise okubaako neby'abategeeza kyokka nebasalawo okumutwala mu kkooti. Byandala azze avaayo lunye okutegeeza nti talina musango n'alayira okwaniika abanene abavuluga…

Read More

Mutabani wa Gaddafi wakuttibwa nga kitaawe

Kkooti mu ggwanga lya Libya esalidde mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddafi  ekibonerezo kya kuttibwa. Saif al-Islam ne banne abalala 8 bakuttibwa olw’emisango egyekuusa ku lutalo mu 2011. Saif ne banne abalala bavunaanibwa kutulugunya beekalakaasi mu 2011 mu lutalo olwamamulako kitaawe Muammar Gaddafi. Wabula Saif tabadde mu kkooti mu kiseera webamusalidde ekibonerezo kino nga era akyakumibwa ekiwayi…

Read More