Al Shabaab fighters
Abantu 13 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu woteeri emu mu kibuga Mogadishu mu ggwanga lya Somalia.
Bbo abasoba mu 40 babuuse n’ebisago ebyamanyi mu woteeri ya Jazeera Palace.
Abakambwe ba Al shabab bewanye nga bwebabadde emabega w’obulumbaganyi buno era nebategeeza nga bwebabadde besasuza oluvanyuma lw’amagye g’omukago gwa Africa okulumba enfo zaabwe.
Bbomu zino zibwatuse…
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
Akakiiko k’ekibiina kya NRM akalondesa kategeezezza nga bwekatagenda kwongezaayo nsalesale w’okujjayo foomu z’okusunsulibwa kw’abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo.
Okugyayo empapula zino Kukomekerezebwa wiiki eno nga kwatandika nga 14 nga era kwakuggwa nga 31 July.
Bannakibiina abasoba mu 1500 bebakagyayo empapula z’okwesimbawo nga okusinga abaagala okukiika mu palamenti n’obwa ssentebe…
File Photo: Police nga ekuba omukka ogubalagala
Poliisi mu kibuga Mbarara y’akubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye.
Abawagizi ba Besigye baabadde bajaganya olw’enkungaana omuntu waabwe zeyakubye mu kunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendere mu kulonda kwa 2016.
Kino kyaggye poliisi mu mbeera n’ekuba omukka ogubalagala okusobola okubagumbulula.
Olwokaano lw’okukwatira…
Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barrack Obama asuubizza nga gavumenti ye bw’egenda okwongera okuwagira olutalo ku batujju.
Nga ayogerako eri namunji w’omuntu ku kisaawe kye Kasarani mu kibuga Nairobi, Obama y’ategezezza nga bwebasobola okuwangula abatujju nga bali wamu.
Ono era y’avumiridde ekikolwa ky’okutulugunya abakayala n’obutabanguko mu maka nti tebirina kifo ku kiseera kino eky’obugunjufu.
Obama y’ategezezza nti amawanga okulemererwa…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Olukungaana olwayitiddwa wakati w’akakiiko akateekebwawo olukiiko olw’okuntikko olufuga ekibiina kya NRM n’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi akawungeezi k’eggulo terwavuddemu kalungi.
Amawulire getufunye galaga nti buli ludda lwalemeddwa okuwulira okusaba kw’olulala.
Kigambibwa nti Mbabazi yegaanyi okuyimiriza enteekateeka ze ez’okwesimbawo ate n’akakiiko nekagaana okukyuusa mu mateeka agafuga okulonda kw’ekibiina.
Mu kiwandiikoa ekifulumiziddwa omwogezi…
File Photo: Abuntu nga bakuuba omubbi
Poliisi ye Seeta Nazigo ekubye amasasi mu bbanga okutaasa ababbi b’ente bebabadde bagenda okwokyebwa abatuuze.
Kigambibwa nti Kamya Peter ne Kasule Micheal abatuuze mu Lubugo babbye ente 2 okuva mu bitundu bye Namayiba mu gombolola ye Nakisunga, wabula abatuuze babawondedde nebakwatira e Seeta Nazigo akawungeezi akayise.
Poliisi ng’eduumira Agnes Akol weyatukidde ng’abatuuze…
File Photo: Ekizimbe kye tendekeero lya Makerere
Ettendekero lya Makerere lyeyongedde okukola obulungi mu nsegeka y’amatendekero agasinga okukola obulungi munsi yonna.
Okusinzira ku nsengeka empya ezikoleddwa ekitongole kya Centre for World University Rankings Makerere esenvudde ebifo 22 okuva mu kifo kya 891 mu mwaka gwa 2014 okutuuka mu kifo kya 869 omwaka guno.
Ensegeka zino zikoleddwa okusinzira ku…
File photo: omukulembeze wa Kenya
Omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama ategeezezza omukutu gwa BBC nga bw’ajja okufuba okukakasa bannakenya nti kikyaamu okuboola abalya ebisiyaga
Obama agambye nti takkiririza mu kuboola kwonna okwesigamye ku kikula ky’omuntu oba langi kale nga nebano wakubamatiza
Obama bino abyogedde asitula okwolekera Kenya ng’eno gy’azaalibwa.
Okukyala kwa Obama era kutunuuliddwa ng’okugendereddemu okulaga obumaliririvu bwa…
File Photo: Enyonyi ya Bungereza
Kkampuni y’enyonyi eya British Airways yakulekera awo okusaabaaza abantu abagenda ku kisaawe kya Heathrow, London okuva Entebbe.
Kino kikoleddwa kubanga asala abadde asusse ng’abatambula batono.
Ekiwandiiko ekivudde mu kkampuni ya British Airways kiraze nti okusaabaza abagenda mu London kwakukoma mu October w’omwaka guno.
Kkampuni eno ennyonyi zaayo zibadde zigenda ku kisaawe kino emirundi ena…
File Photo: Lukwago na ba Dp
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti mwetegefu okutuula ku meeza ateese n’abo b’atalima nabo kambugu ku lw’ekibiina kino.
Ng’ayogerako eri bannakibiina mu kuggulawo ttabamiruka e Katoomi Garuga, Mao agambye nti ekigendererwa kye kugatta bannakibiina era buli awagira kino ayanirizibwa
Mao yetondedde abo bonna b’alinnyeeko n’ategeeza nti keekadde okugenda mu maaso.
Ttabamiruka…