Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Omukazi ayiridde munee amafuta n’amukumako omuliro

    Abatuuze be Luzira ku stage 6 baguddemu ekyekangao omukazi bwayiridde munee amafuta ga Petylooli n’amukumako omuliro nga amulanga kumwagalira musajja. Omukyala ategerekeseko erya Janiffer yeyalumbye munne ategerekese nga Annet abadde asiika chips ku stage 6 namuyiira petulooli n’amwokya. Kyoka ebyembi amafuta gano gasamukidde abantu abalala 5 ababadde bazze okuggula chips era bona bddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e…

Read More

Okukyala kw’o Barack Obama mu Kenya

File Photo: Omukulembeze wa America Okukyala kw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama wano ku muliraanwo mu Kenya kukyagyamu abantu ab’enjawulo omwasi. Omu ku bannabyabufuzi abakukutivu Yonna Kanyomozi agamba Obama agidde mu kiers ekirungi nga ekitundu kya East Africa kifumbekeddemu obutujju, obutabanguko wamu n’abavubuka banji abakaaba emirimu. Wabula Kanyonozi alabula banansi mu ggwanga lya East Africa okutaba nyo nasuubi…

Read More

Dr Kiiza Besigye kati ayolekedde Masaka.

File Photo : Muntu ngali eKabaale Okunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 kukyagenda mu maaso. Oluvanyuma lw’okuyugumya ebitundu bye Busoga ne Bugishu, eyali ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye kati ayolekedde Masaka. Mungeri yeemu ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu olwaleero ayolekedde bitundu bya West Nile. Muntu agamba buli kimu kitambula bulungi…

Read More

Abawakanya Mao bolekedde Luweero

File Photo: Meeya wa Kampala nga yogeera Ab’ekiwayi kya Mao bali mu ttabamiruka ab’ekiwayi ekikulemberwa loddi meeya wa Kampala Erias Lukwago bolekedde disituliki ye Luweero okukuba enkungaana gaggadde. Abawagizi baabwe abasoba mu 100 basimbudde okuva ku ofiisi y’omubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala okuli loodi meeya Erias Lukwago n’omubaka Ssebuliba Mutumba ababakulembeddemu. Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu…

Read More

Tabamiruka w’ekibiina kya Democratic Party atandise wali e Katomi

    Tabamiruka w’ekibiina kya Democratic Party atandise wali e Katomi Kingdom Resort nga emikolo gyonna gikulembeddwamu b’ekiwayi kya ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao. Wabula abamu ku besimbyewo balaze obutali bumativu olw’abanaabwe bebesimbyeko okuba nga bekali mu mitambo gy’emikolo gyonna nga n’abamu bagamba batuula ku kakiiko k’ebyokulonda. Abakungu b’ekibiina kino okuva mu disirulikiti 110 kwezi 112 ezisuubirwa batue dda. Twogeddeko…

Read More

Owa Taxi Mayambala alumbiddwa abazigu

Omukulembeze w’abagoba aba Taxi mu Kampala Mustafa Mayambala asabye poliisi okukwata abo bonna abali emabega wokumukuba kata bamumize omukka omusu. Mustapha Mayambala yalumbiddwa abantu abatanaba kutegereka e Nakivubo ng’agenda okunona emotoka yye  olunaku lwajjo. Bano bamukubye  ebikonde ebyamutusizza ku ku kitanda e Nsambya gy’asibudwa olunaku lwaleero. Twogeddeko naye n’ategeeza nga bw’akyali omugonvu wadde ng’asibuddwa . KCCA bw’etukiriddwa ku nsonga…

Read More

Abayimbi baakutiddwa

Abayimbi ne banakatemba balabuddwa okwewala okuyimba ku ensimbi, wamu n’okuzanya emizanyo egisiga obukyayi mu bantu naddala nga tusemberera akalulu ka 2016. Omu ku bakulira ekibiina kya Golden Band Ronald Mayinja agambye nti abayimbi balina omulimu munene nyo okusomesa abantu ebikwata ku kulonda wamu okubunyisa emirembe nga bayita mu nyimba n’emizanyo. Mayinja era asabye abayimbi okuyimba enyimba ez’amazima…

Read More

Omufere bamuyodde

Agava mu Kampala galaze nga ekitongole kya Uganda Revenue Authority  bwekikutte omusajja agambibwa okuba ng’abadde akozesa olukujjukujju okujja ensimbi ku bantu nga yeeyita omukozi wa kitongole kino Omukwate ategerekese nga Tom Candia, nga ono okusinga abadde akolera mu Kampala. Twogeddeko ne Kisitu Kigozi,nga ono y’akulira ebyokukwasisa amateeka mu kitongole kino, n’ategeeza nti bamusanze ne kaadi za URA…

Read More

Museveni awagidde okufuuyira

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde minisitule  y’ebyobulamu okuddamu okufuuyira eddagala erirwanyisa omusujja gw’ensiri mu muyumba g’abantu , ogwongedde okutirimbula abantu mu mambuka g’eggwanga. Kino kijjidde mu kiseera nga minisitule yakategeeza nti omusujja gw’ensiri gweyongedde okusaasana era nga gwakatta abantu 10 mu disitulikiti omuli Lamwo, Gulu, Kitgum, Oyam, n’endala. Bw’abadde awumbawumba okulambula kwabaddeko mu bitundu bya- West…

Read More

1500 baggyeeyo foomu

Bannakibiina kya NRM abasoba mu 1500 beebakajjayo empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kamyufu k’ekibiina. Ku bano kuliko abagaala okufuuka ababaka ba palamenti abasoba mu 950, abagaala okufuuka ba ssentebe ba disitulikiti 635 n’abalala. Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr Tanga Odoi agambye nti okuvuganya okw’amaanyi kusinze mu bugwanjuba bw’eggwanga, obuvanjuba wamu n’amasekkati g’eggwanga. Wabula…

Read More