File Photo: Muluri mukasa nga yogeera
Gavumenti essizza emikono ku ndagaano ne gavumenti ya Saudi Arabia egenda okukozesa bannayuganda ng’abakozi b’awaka.
Gyebuvuddeko, gavumenti yakitongoza okutwaala bannayuganda okukola emirimu egitali gimu nga kati bano bagenda mu Saudi Arabia
Minisita akola ku nsonga z’abakozi Muluuri Mukasa agambye nti endagaano eno yakutandika okukola mu mwezi gw’omwenda bannayuganda webanatandikira okukola.
Mu bimu ku…
File Photo: Mike Mukula ngava mu komera
Omubaka wa municipaali ye Soroti Capt Mike Mukula yegasse kw’abo abagaala obukulembeze mu kibiina kya NRM.
Mukula amaze okujjayo foomu okwesimbawo ku bwa ssentebe bw’ekitundu ky’obuvanjuba mu kibiina kya NRM.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okujjayo foomu, Mukula agambye nti ky’ayagala kwekusigaza akasubbaawa k’ekibiina kya NRM nga kaaka mu buvanjuba.
Ono agambye nti…
File Photo: Omukulembeze wa America
Mu kibuga Nairobi wano ku miliraano mu Kenya kissa kinegula nga abaayo balindirira omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama asuubirwa mu essaawa yonna.
Tukitegeddeko nga Obama bw’asimbudde okuva mu Amerika nga kati ali mu kkubo.
Ebyo nga bikyali bityo okusinziira ku lupapula lwa e Standard News Paper, obupiira bu kalimpitawa obusoba mu 14000…
Poliisi ye Naggalama mu disitulikiti ye Mukono eggalidde omukyala Rosemary Nampiima ow’emyaka 67 lwakugaba mwana mu kika ekikyaamu.
Kino kiddiridde omusajja Joseph Mubiru okubanja omukyala ono amuwe omwana we Rachael Nabumba atemera mu myaka 28, wabula ye byonna ng’abyegaana nti omwana yamuzaala muba Fumbe ewomugenzi Damasiko Nkulambi.
Enkayaana zino zibadde zitutte emyaka ku kyalo Nakanyonyi mu gombolola…
KKooti enkulu etuula e Mukono ng’ekubirizibwa omulamuzi Paticia Basaza Wasswa etandise okuwulira omusango gw’omusajja avunaanibwa okwokyera mutabani we mu nyumba.
David Kabogoza omutuuze we Nabuta e Seeta, kigambibwa nti yakkakkana ku mutabani we yekka gweyalina Marvin Kivumbi ow’emyaka 7 n’amusibira mu nyumba n’agitekera omuliro n’asiriaka.
Bino byaliwo mu mwaka gwa 2011 mu budde bw’ekiro oluvanyuma ye taata…
Abatuuze be Luzira ku sitge ey’omukaaga baguddemu ekyekango omukazi bw’ayiridde munne amafuta ga Petulooli n’amukumako omuliro ng’amulanga kumwagalira musajja.
Omukyala ategerekeseeko erya Jeniffer yeeyalumbye munne ategerekeseeko erya Annet abadde asiika chips ku stage 6 namuyiira petulooli n’amwokya.
Kyokka ebyembi amafuta gano gasamukidde abantu abalala 5 ababadde bazze okuggula chips era bonna baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Poliisi…
Okukyala kw’omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama wano ku muliraanwo mu Kenya kukyagyamu abantu ab’enjawulo omwasi.
Omu ku bannabyabufuzi abakukutivu Yonna Kanyomozi agamba Obama agidde mu kiseera ekirungi nga ekitundu kya East Africa kifumbekeddemu obutujju, obutabanguko wamu n’abavubuka bangi abakaaba emirimu.
Wabula Kanyonozi alabula banansi mu ggwanga lya East Africa okutaba nyo nasuubi mu Obama yadde nga…
Okunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 kukyagenda mu maaso.
Oluvanyuma lw’okuyugumya ebitundu bye Busoga ne Bugishu, eyali ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye kati ayolekedde Masaka.
Mungeri yeemu ssenkaggale w’ekibiina Maj Gen Mugisha Muntu olwaleero ayolekedde bitundu bya West Nile.
Muntu agamba buli kimu kitambula bulungi okugyako poliisi bweyagezezzaako okumulemesa okugenda…
W’owulirira bino nga ttabamiruka w’ekibiina kya Democratic Party atandise wali e Katomi Kingdom Resort ng’emikolo gyonna gikulembeddwamu ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao.
Wabula abamu ku beesimbyewo balaze obutali bumativu olw’abanaabwe bebesimbyeko okuba nga bebali mu mitambo gy’emikolo gyonna nga n’abamu babalumiriza okutuula ku kakiiko k’ebyokulonda k’ekibiina.
Abakungu b’ekibiina kino okuva mu disitulikiti 110 kwezo 112 ezisuubirwa batuuse …
Kooti enkulu etuula e Mukono ngekubirizibwa omulamuzi Paticia
Basaza Wasswa etandise okuwulira omusango gwomusajja avunanibwa
okwokya mutabani we mu nyumba. Kabogoza David omutuuze we Naabuta e Seeta, kigambibwa yakakana ku mutabani we yekka gweyalina Kivumbi Marvin owemyaka 7 namusibira mu nyumba nagitekera omuliro nasirikka.
Bino byaliwo nga 17/09/2011 mu budde bwekiro oluvanyuma ye taata
nadduka.
Abajulizi babiri okuli abasirikale ba…