Omukulembeze w’abagoba aba Taxi mu Kampala Mustafa Mayambala asabye poliisi okukwata abo bonna abali emabega wokumukuba kata bamumize omukka omusu.
Mustapha Mayambala yalumbiddwa abantu abatanaba kutegereka e Nakivubo ng’agenda okunona emotoka yye olunaku lwajjo.
Bano bamukubye ebikonde ebyamutusizza ku ku kitanda e Nsambya gy’asibudwa olunaku lwaleero.
Twogeddeko naye n’ategeeza nga bw’akyali omugonvu wadde ng’asibuddwa .
KCCA bw’etukiriddwa ku nsonga…
Abayimbi ne banakatemba balabuddwa okwewala okuyimba ku ensimbi, wamu n’okuzanya emizanyo egisiga obukyayi mu bantu naddala nga tusemberera akalulu ka 2016.
Omu ku bakulira ekibiina kya Golden Band Ronald Mayinja agambye nti abayimbi balina omulimu munene nyo okusomesa abantu ebikwata ku kulonda wamu okubunyisa emirembe nga bayita mu nyimba n’emizanyo.
Mayinja era asabye abayimbi okuyimba enyimba ez’amazima…
Agava mu Kampala galaze nga ekitongole kya Uganda Revenue Authority bwekikutte omusajja agambibwa okuba ng’abadde akozesa olukujjukujju okujja ensimbi ku bantu nga yeeyita omukozi wa kitongole kino
Omukwate ategerekese nga Tom Candia, nga ono okusinga abadde akolera mu Kampala.
Twogeddeko ne Kisitu Kigozi,nga ono y’akulira ebyokukwasisa amateeka mu kitongole kino, n’ategeeza nti bamusanze ne kaadi za URA…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu okuddamu okufuuyira eddagala erirwanyisa omusujja gw’ensiri mu muyumba g’abantu , ogwongedde okutirimbula abantu mu mambuka g’eggwanga.
Kino kijjidde mu kiseera nga minisitule yakategeeza nti omusujja gw’ensiri gweyongedde okusaasana era nga gwakatta abantu 10 mu disitulikiti omuli Lamwo, Gulu, Kitgum, Oyam, n’endala.
Bw’abadde awumbawumba okulambula kwabaddeko mu bitundu bya- West…
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 1500 beebakajjayo empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kamyufu k’ekibiina.
Ku bano kuliko abagaala okufuuka ababaka ba palamenti abasoba mu 950, abagaala okufuuka ba ssentebe ba disitulikiti 635 n’abalala.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr Tanga Odoi agambye nti okuvuganya okw’amaanyi kusinze mu bugwanjuba bw’eggwanga, obuvanjuba wamu n’amasekkati g’eggwanga.
Wabula…
Agava mu ggwanga lya Nigeria galaga nga bbomu ez’emirundi 2 bwezisse abantu abasoba mu 20 ku siteegi ya baasi mu kibuga Gombe.
Gyebuvuddeko waliwo lumira mwoyo eyetulisizzaako bbomu n’atta abantu 11 ku muliraano mu ggwanga lya Cameroon.
Ate wiiki ewedde abantu 49 bebaafa oluvanyuma lw’aba Boko Haram okutega bbomu mu katale.
Bukyanga Muhammudu Buhari alya obukulembeze bw’eggwanga,…
Poliisi e Mukono ekutte omukulu w’essomero lya St Michael High school e Sonde mu division ye Goma ayambeko mu kunonyereza ku muyizi eyatiddwa ku ssomero lino.
Omukulu we ssomero Richard Mpaka avunanibwa bulagajavu ng’omukulu w’essomero ekyaviriddeko omuyizi Laul Nyok Akuel owemyaka 22, munnansi wa South Sudan okufumita munne ekiso mu kisulo mwebabadde basula.
Ono yafumise Brain Rukundo…
File Photo: Aba Democratic Party
Ebikumi n’ebikumi by’abakungu b’ekibiina kya Democratic Party olwaleero basuubirwa okweyiwa wali e Katomi mu disitulikiti ye Wakiso okwetegekera ttabamiruka.
Ttabamiruka ono agulwawo mu butongole olunaku olw’enkya okutuusa ku sande .
Bano era bakulonda obukulembeze obuggya okuviira ddala ku ssenkaggale okutuuka ku bakulembeze b’ebyalo.
Ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao ategezezza nga bamemba 1,700 bwebakakasizza okwetaba…
Ab’omukago gwa Africa mu Somalia beddizza ekimu ku bibuga ebyaali byawambibwa abatujju ba al-Shabaab
Abajaasi ba Kenya bamaze okwesogga ekibuga kye Bardere nga kino kibadde kya bayeekera okuva mu mwaka gwa 2008
Bbo abaduumizi ba Alshabaab babiri beebattiddwa mu lutalo lw’okuwamba ekibuga kino.
Aba Alshabaaba bano tebannanyega kigambo.
File Photo: Abantu nga bazikuula emirambo
Okuziikula emirambo gy’abantu abaziikibwa mu ntaana z’ekirindi e Bundibuggyo kwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw’enkya.
Abantu abasoba mu 50 beebaziikibwa mu ntaana zino mu mwaka gwa 2014 oluvanyuma lw’abatuuze okugaana okukima emirambo gy’abantu abattibwa.
Omusawo wa poliisi Moses Byaruhanga agambye nti ab’obuyinza bakyusizza endowooza ku aw’okuziika abantu bano nga kati poliisi y’erina okunoonya ettaka.
Byaruhanga…