Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ababadde beekalakaasa babakutte

File Photo: Ekijukizo kya indipendence Poliisi ekutte abavubuka babiri ababadde bageezaako okwekalakaasiza ku kijjukizo ky’amefuga g’eggwanga. Bano babadde basaba nti amateeka g’eby’okulonda gayisibwe ng’okulonda kwa 2016 tekunnaba kutuuka Robin Wabulembo ne munne Simon Wanyera batambudde okuva e Wandegeya kyokka bagenze okutuuka ku kijjukizo kino nga poliisi yabalinze dda era n’ebatwala nga tebalinnya. Bano balumirizza gavumenti olw’okugayaala okuyisaamu amateeka n’ekigendererwa…

Read More

Aba KK beebali bakuuma ku Kyaddondo

File Photo: Aba kk Security Olwaleero kitegerekese nti poliisi ssi yeyali mu mitambo gy’eby’okwerinda ku Kyaddondo Rugby grounds bbomu weyabwatukira emyaka etaano emabega. Eyali akulira poliisi y’oku luguudo lwe Jjinja Chemonges Sharif Seiko agambye nti aba kkampuni ya KK beebali bapangisibwa okukuuma ekifo kino era nga n’olunaku lwenyini olw’amaziga, beebali bakuuma Chemonges ategeezezza kkooti nti yaliwo nga bbomu…

Read More

Mulwanyise obwavu- Katikkiro eri bannassingo

File Photo: Mayiga nga bamulambuza Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga yenyamidde olw’abantu abataliiko kyebakola kweyimirizaawo nebadda mu kuzannya zzaala n'okusiba emipiira nga kino kikuumidde abantu ba ssabassajja bangi mu bwaavu. Katikiro okwogera bino abadde mu Ssaza lye Ssingo mu gombolola ye Myanzi mu disitulikiti ye Mubende ku mulimu gw’aliko ogw'okukunganya Ettofaali okuzza Buganda ku ntiko. Mu…

Read More

Amasaza amapya-Ababaka bawaddeyo endowooza zaabwe

File photo: Ababaka ba Palimenti Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekubidde enduulu eri akakiiko akakola ku gavumenti ez’ebitundu nga bawakanya okutondebwaawo kw’amasaza 39 amapya. Akulembeddemu aba gavumenti ‘ekisikirize era nga yye ssabawandiisi wa FDC Nandala Mafaabi agambye nti okutondawo amasaza gano kirimu ebyobufuzi era nga mugugu eri omuwi w’omusolo. Mafaabi agambye nti abantu bangi abagaala amasaza gano…

Read More

Mukulu alabiseeko mu kkooti

File Photo: Mukulu ngali ku npingu Akulira abayekeera ba ADF Sheikh Jamil Mukulu olwaleero alabiseeko mu kkooti Jamil Mukulu eyakomezebwaawo ku butaka ku ntandikwa y’omwezi guno atwaliddwa mu kkooti enkya ya leero ng’abadde wamu n’omumyuka we Mohammad Matovu n’eyali akola ku by’ensimbi Umar Abdallah Muteka. Abasatu bano okutuuka ku kkooti bajjidde mu motoka kika kya saluuni eya tinti…

Read More

Ababaka bagaala bifo birala mu palamenti

File Photo: Ababaka ba palamenti Nga gavumenti yakamala okutondawo amasaza amalala 39, nate ababaka ba palamenti sekinoomu batandise okwekulumulula nga bagenda mu kakiiko  ka palamenti  aka gavumenti ez’ebitundu nabo okusaba amasaza agaabwe. Mu kaseera  kano ababaka musanvu beebakagenda mu kakiiko kano okusaba amasaza amalala, nga bagamba nti pulezidenti aludde nga abasuubiza, kale nga tebaagala kiwendo kino kibabuuke. Wabula…

Read More

Sekandi atongozezza emisinde gya kokoolo

File Photo: Sekandi nga kuba mungalo Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi atongozezza emisinde gy’okulwanyisa kokoolo egy’omwaka 2015 . Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo okumalawo obuzibu bw’ebbula ly’omusaayi. Ssentebe w’akakiiko akateekateeka emisinde gino Fred Masadde agambye nti emisinde gino gyakubeera ku kisaawe e Kololo nga 30 omwezi ogujja. Eyakulemberamu omulimu gw’okusaba etterekero…

Read More

DP yakuva mu mukago gw’abavuganya- Mao

File Photo: Seya ne Sejusa ku kitebe kya DP Ab’ekibiina kya DP beegaanye Loodimeeya Erias Lukwago nga bagamba nti takyaali munna DP. Ssenkaggale wa DP Norbert Mao agamba nti Lukwago yava mu kibiina mu mwaka gwa 2011 lweyasalawo okwesimbawo nga namunigina ku bwa loodimeeya. Mao ategeezezza nga bw’ajja okujja enta mu mukago gw’abavuganya ogwa The Democratic Alliance ssinga…

Read More

Okuwandiisa ababaka kwongezeddwaayo

File photo: Ababaka ba Palimenti Akakiiko k’ebyokulonda kakoze enkyukakyuka mu nnaku z’okusunsula abagenda okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti mu kalulu ka 2016. Okusooka akakiiko kano kaali kataddewo ennaku z’omwezi okuva nga 9-10 November wabula kati bazijjuludde okudda ku nga 2 ne 3 December. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Dr .Badru Kiggundu agamba enkyukakyuka zino zibadde tezeewalika olw’embeera y’ebyobufuzi nayo ezze…

Read More

Semaka asse omwana neyetta

File photo: Abatuze be mubende   Ekikangabwa kigudde ku kyaalo Kattabalanga ekiri mu gombolola ye Kitenga e Mubende ssemaka bwakakkanye ku mwana we n’amusalako omutwe oluvanyuma neyetuga. Bernard Kajura ow’emyaka 60 akkakkanye ku mwana we ategerekese nga Ronald Mwesigye ow’emyaka 12 n’amutta ng’asoose ku musalako mutwe, olwo neyeteeka ku mulabba gw’enyumba neyetuga. Mwanyina wa semaka ono Dementria Tugumisiriza agambye…

Read More