Abakulira ekitongole ekigaba endaga Muntu basabiddwa mu ggwanga basabiddwa okuvaayo n’enkola enayamba okuwandiisa bannayuganda abali emitala w’amayanja.
Ekitongole kino kizze kitekebwa ku ninga okuwandiisa abantu bano nabo bafune endaga Muntu z’eggwanga.
Wabula minisita w’ensonga zomunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima agamba eteeka eriliwo mu kiseera kino teribasobozesa kukola kino.
Wabula asabye abakola ku nsonga eno okufuna engeri gebaggye…
File Photo : Abateberezebwa okutega bomu
Omu ku bavunaanibwa okutega bbomu ezatta abantu mu mwaka 2010 yegaanye sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza okuzza emisango.
Habibu Sulaiman Njoroge ategeezezza omulamuzi Owiny Dollo nti yatendewalirwa n’akkirizza emisango oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa
Njoroge agambye nti basooka kumukaka kunywa mazzi olwo nebalinda ng’ayagala kufuuyisa nebamusiba akaveera ku busajja era nebamugaana okufuka
Ono agamba nti wano webamuweera sitatimenti…
File Photo Besigye ngali mu kampayini
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye atandise na maanyi kampeyini ze ng’ayagala abantu bamulonde okukwata bendera y’ekibiina.
Besigye eyabadde ayambadde ekanzu yasookedde Kasangati gyeyayaniriziddwa era n’akwasibwa effumu n’engabo omukwagaaliza olutabaalo olulungi
Yeeyongeddeyo ku growers e Bwaise ng’eno gy’asinzidde n’asaba poliisi okussa nnyo amaanyi ku nsonga enkulu mu ggwanga mu kifo…
File Photo : Omukyala nga kutte akapande akogere ku silimu
Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bagamba nti ekigendererwa ky’okussa abantu obukadde 15 ku ddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya kyatuukibwaako dda.
Ekigendererwa kino kyatuukibwaako mu mwezi gw’okusatu.
Nsalessale yali wa mu mwaka guno nga guggwaako era nga kino kyakolebwa okuyita mu kuwa abantue ddagala eriweweeza ku mukenenya…
File Photo: Taxi mu Park
Abagoba ba Taxi ababadde bawerako bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’ab’oluganda lwa munaabwe kati omugenzi okugaana okukirizza okutwala omulambo okuzikibwa olunaku lwaleero okutuusa enkya.
Kino kiddiridde Edward Musisi kati omugenzi nga abadde mugoba wa Taxi ku luguddo lwe Luzira okufa n’abulwako abantu be,wabula dereeva nebekolamu omulimu nebanonya ewaabwe w’omugenzi era nebalabayo .
Kyokka akavuyo…
File Photo: Abayizi mu kibiina
Okubala abayizi mu masomero mu kibuga kampala kufundikiddwa era abakukoze bagamba kutambudde bulungi.
Omulimu guno ogumaze olunaku lumu gukoleddwa aba minisitule ekola ku byenjigiriza ng’ekigendererwa kumalamu bayizi ba mpewo mu masomero ga gavumenti.
Mu masomero nga Kololo High school, Old Kampala secondary school,n’amalala, aba minisitule tebasanze bizibu kubanga amasomero gabadde be failo.
Ku ssomero…
File Photo: Ababaka ba palamenti
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kakunyizza aba minisitule ekola ku by’enguudo olw’okulwaawo okuzimba omwaalo gwe Bukasa
Okuzimba omwaalo kwaali kwakutandika omwaka oguwedde kyokka ebintu nebyesiba
Ng’alabiseeko mu kakiiko kano enkya ya leero, minisita omubeezi akola ku byenguuzo Steven Chebrot agambye nti bali mu lugendo lw’okufuna yiika 500 okuva ku b’ebibira kyokka ng’obuzibu…
Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima akkakkanyizza emitima gy’abantu nti wandibaawo akavuyo oluvanyuma lw’akalulu k’omwaka ogujja
Kiddiridde okutya okutandise okulabika mu bantu nti ebintu byanditabuka mu kalulu akajja.
Okugumya kuno Aronda akukoze alayiza olukiiko oluggya olugenda okukola ku nsonga z’endagamuntu.
Aronda agambye nti ab’eby’okwerinda webali okulaba nti embeera teva mu mikono gyaabwe okudda mu…
File Photo: Enyonyi ya Updf eyo mubanga
Amagye g’eggwanga ag'omubbanga geeganye ebigambibwa nti gagoba abatuuze ku ttaka mu disitulikiti ye Nakasongola okusobola okuzimbako ekitebe ky’amagye gano.
Aduumira amagye gomubbanga ku ssomero ly’abajaasi b’eggye lino Maj Gen Joshua Masaba ategezezza nga ettaka eryogerwako eriwezaako obwagagavu bwa square mailo 20 lw’amagye okviira ddala mu myaka gyensanvu nga n’abaliko basasulwa…
File Photo: Abantu nga bali mu kooti
Kkooti enkulu esingisizza Edson Wako omusango gw’okutta omuserikale wa poliisi John Michael Ariong during the 2012 walk to work riots.
Omulamuzi Elizabeth Alividza y’asingisizza Wako omusango guno oluvanyuma lw’abajulizi 2 okutegeeza nga bwebamulaba nga akuba omuserikale Ariong bulooka ku mutwe ku luguudo lwa Ben Kiwanuka .
Omulamuzi yesigamye ne ku bujulizi…