Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Besigye addamu okukuba enkiiko

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya  FDC Dr Kiiza Besigye wakuddamu okukuba kampeyini ze ku kifo ky’anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 oluvanyuma lw’okutuuka ku nzikiriziganya ne poliisi. Olwokuna oluwedde poliisi yalinya eggere mu nteekateeka za Besigye zeyali alina okukuba e Kasangati ne Kawempe oluvanyuma lw’okutegeeza nti teyajitegezaako mu butongole. Akulira bakakuyege ba Besigye  Geoffrey Ekanya…

Read More

Abakyala abambala enkunamyo bakwatiddwa

Abakyala enzaalwa ya Moroccco abakwatibwa olw’okwambala sikaati enyimpi bajjiddwaako emisango. Bano bakwatibwa mwezi guwedde nga bali mu katale, abatembeeyi gyebaali bagaala okubambulira. Okukwatibwa kw’abakyala bano kwavumirirwa nnyo okwetoolola ensi yonna nga bagamba nti kulinyirira ddembe ly’abantu Bannamateeka abali mu 100 beewaayo okuwolererza abakyala bano era olwaleero bayimbuddwa

Read More

Abayisiraamu basabiddwa okusaba ennyo mu kiro ekitukuvu

Abayisiraamu basabiddwa okusula nga basaba nga balindirira ekiro ky’amagero ekya Lailatul Khadir. Ekiro kino kibeera mu nnaku z’ensunsuuba ebisembayo ekkumi mu kisiibo nga kati abantu balina okunyikiza okusaba ekiro kyaleero n’ekyo ekya 29. Omuntu ekiro kino gwekisanga ng’ali ku kigambo kya Allah ebirungi by’afuna bya myaka 80 Imaama w’omuzikiti gwa kampala mukadde Sheikh Imran Ssali agamba nti ekiro…

Read More

gwebaakuba omusumaali mu mutwe tannalongoosebwa

Omusajja eyakubwa  omusumaali ogwa Yinki 6 mu mutwe embeera ye ekyaali mbi nyo nga negyebuli kati omusumali tegunajjibwamu. Ismael Yahaya  asangiddwa ku ward ya 3b avaamu amaziga amayitirivu agalaga obulumi bwamanyi bw’alina yadde nga tasobola kwogera. Twogeddeko ne nyina  Florence Nakisozi n’ategeeza nga bwezandiba enkayaana z’ettaka era ng’abasawo baakizudde nti ono okumukuba omusumaali mu mutwe basooka kumukuba…

Read More

Bamubbyeeko piki

Omugoba wa Bodaboda gwebabbyeeko pikipiki ye ate asanze mukama we atasaga n’amutungulamu enjala ng’amulanga bulagajjavu. Abdu Kayondo asangidwa mu ddwaliro e Mulago nga talina njala mu bigere  agamba omusajja yamupangisizza amutwale e Manyangwa wabula bwebatuseeyo namusalira amagezi okukkakkana ng’amubbyeko Boda empya nga bwanyonyola. Kitegerekesse nti guno mulundi gwakubiri nga Kayondo bamubbako Boda nga n’ogwasooka omusabaaze yamulimba nti…

Read More

Abaana basumattuse omuliro

Abaana basatu basumattuse okufiira mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde beebase Abaana abataasiddwa kuliko Fauza Nasuna ow’emyezi 6, Salima Nakisekka ow’emyaka 2, ne Akram Suna. Akabenje kano kabadde ku kyaalo Kirebe , lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule mu maka ga Sulaiti Byekwaso. Byekwasa agamba nti omwana omukulu Ssuna y’akolerezza akataala okunoonya engoye ze kyokka negazigwaako olwo negukoleera era nga…

Read More

Poliisi egonze ku nkiiko z’abavuganya- yegaanye eby’okubaamu kyekubiira

Poliisi ekyaddaaki ekkiriza kampeyini z’abesimbyeewo ku kukwata bendera ya FDC okugenda mu maaso. Kiddiridde enkiiko ezitali zimu wakati wa bannamateeka ba FDC ne poliisi oluvanyuma lwenkiiko za Dr Kiiza Besigye ezasooka okugwa obutaka Akulira akakiiko akalondesa mu FDC Dan Mugarura agamba nti nga bamaze okukwatagana ne poliisi, tebasuubira kutataganyizibwa kwonna. Mugarura agambye nti abesimbyeewo okuli Dr Kiiza Besigye…

Read More

Katikkiro awabudde ku byobufuzi

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okussa ekitiibwa mu nkola y’amateeka nga bagenda mu maaso n’okuwenja obululu. Mayiga agambye nti obutakkaanya obuli wakati wa gavumenti, poliisi ssaako ne bannabyabufuzi abavuganya gavumenti  busobola kugonjolwa mu mbuga z’amateeka sso ssi kusika muguwa. Mayiga era asabye bannabyabufuzi bulijjo okukitegeera nti bannayuganda basinga kwettanira mirembe okusinga ekintu ekirala…

Read More

Ababaka basusse omululu- abalwanyisa enguzi

File photo: Ababaka ba Palimenti Ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga ekya Anti corruption Coalition Uganda kyaagala akakiiko aketengeredde katekebwewo okugereka emisaala gy’ababaka ba palamenti n’abakozi ba gavumenti abalala. Kino kiddiridde ababaka ba palamenti okuyisa ekiteeso nga baagala bongezebwe pensoni n’ebitundu 30% . Akulira ekibiina kino  Cissy Kagaba agamba ababaka bano berowoozako bokka nga banji ku bannayuganda bakaaba…

Read More

Olukiiko lwa Buganda lutudde

File Photo: Olukiiko lwa Buganda Olukiiko lwa Buganda luzzeemu okutuula olunaku olwaleero okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2015/2016. Wiiki 2 emabega  embalirira ya buwumbi 8 yeeyasomebwa minisita w’ebyensimbi eva Nagawa, era ng’ensimbi ezisinga obungi zakuva mu Buganda land board, Nkuluze, emisolo ku masomero wamu n’amakubbo amalala. Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya agambye nti abakiise bakukubaganya…

Read More