Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Amasanga gakwatiddwa

Poliisi eriko bokisi z’amasanga g’enjovu 48 gekwatidde ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe. Amasanga gano gasangiddwa nga gazingiddwa mu kaveera nga kungulu kubikiddwako obubaawo. Poliisi etegezezza nga amasanga gano bwegabadde gatwalibwa mu ggwanga lya Singapore nga gabadde gaakutikibwa ku nyonyi ya Kampuni ya Ethiopian airlines. Aduumira poliisi ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe  Awita Lobvick  akyagenda mu maaso n’okuggula amabokisi gano omuli…

Read More

Abawera bajjeeyo foomu

Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okugyayo foomu z’okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wali ku kitebe ky’ekibiina ku luguudo lwe Kyaddondo. Abakajjayo foomu zino kuliko omubaka wa Mawokota South Amelia Kyambadde, Singh Katongole  ku kifo ky’omubaka wa Rubaga North, Juuko Nakalanzi Maria  ku ka municipaali ye Masaka ne kansala w’abavubuka Adam Kyazze  ayagala okusigukulula Muhammad…

Read More

Omulambo ogubaddeko enjaga

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okwekenenya omulambo gw’omusajja ogusangiddwamu emisokoto gy’enjaga amakumi ana nga eweramu kitundu kya kilo. Enjaga eno ebalirirwamu obukadde bwa siringi ebikumi bibiri  ze doola za Amerika emitwalo mukaaga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga ategezezza nga omugenzi atemera mu gy’obukulu nga 45 omulambo gwe bwegwasangiddwa e Kiwawu mu disitulikiti ye Mityana nga y’abadde…

Read More

Aba NRM bakubaganye empawa ku nsimbi

  File Photo: Abawagizi ba NRM Abamu ku babaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM  bakyakubagana empawa ku nsimbi ezagerekeddwa ekibiina kyabwe eri oyo yenna ayagala okwesimbawo mu kamyufu.   Omubaka wa Mityana North Godfrey Kiwanda agamba ensimbi zino zakulemesa naddala abagenda okwesimbawo omulundi ogusookera ddala.   Kiwanda agamba ssente sizezibadde zisaana okusalawo ku bumalirivu bw’omuntu okwesimbawo.   Okusinziira ku byafulumizibwa ekibiina…

Read More

Omulambo ku ssezibwa gubasattizza

File Photo: Abalambuuzi nga bali ku Sezibwa Ensasagge nentiisa bigudde mu badigize ababadde bazze okulya obulamu bwebazudde omulambo mu mugga Ssezibwa e Kayanja mu district ye Mukono. Omulambo gwomuwala atategerekese gulabiddwa abalambuzi ku Ssezibwa Resort akafo akasanyukirwamu, nga kisubirwa yaggwa mu biyiriro byamazzi ebisangibwa ku kyalo Busiba mu gombolola ye Nakisunga. Wabbali wasangiddwawo essimu ye gyebakozesezza okukubira abantu…

Read More

Poliisi esse abadde abba omulongooti

File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali Poliisi ye  Bukomansimbi eriko omusajja gw’ekubya amasasi n’emutta bw’asangiddwa nga yemakulira ku mulongooti gwa kampuni y’amasimu eya Airtel.   Paul Ssemakula omutuuze we Zana wano mu Kampala y’akubiddwa amasasi agamutiddewo oluvanyuma lw’okumusanga lubona nga apangulula omulongooti e Bukomansimbi.   Semakula okutibwa kyaddiridde omukuumi w’omulongooti guno Job Okello okukubira poliisi essimu eyazze n’emukuba amasasi.   Kigambibwa…

Read More

Ebyenfuna bikyali bibi

File Photo: Ekizimbe ka Statistics House Abakugu mu bye’nfuna balabudde nti ebyenfuna by’eggwanga byakwongera okunafuwa singa ebyobufuzi mu ggwanga tebitebenkera. Olunaku lweggulo banka y’eggwanga enkulu y’alinyisizza amagoba banka endala kwezewolera ensimbi nga kale abasinga batidde nti nazo zandirinyia kweziowolera bannayuganda. Abamu ku bakugu ebyenfuna okunafuwa bakiteeka ku siringi ya Uganda kwongera kunabuuka wabula ye Ramadhan Goobi embeera y’ebyobufuzi…

Read More

Abalwanirira eddembe ly’obuntu bakaaba

File Photo: Abakakiiko ke dembe lyo buntu Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye gavumenti okuzzawo n’okuzza buggya endagaano ya ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga. Endagaano ye y’aggwako mu mwezi ogwokuna Eyali ssentebe w’akakiiko kano  Margret Ssekajja agamba okulwawo okuzzawo akakiiko kano kuba kutyobola ddembe ly’obutu. Agamba mukiseera kino abantu baagala kuyambaibwa olw’edembe lyabwe okwongera okulinyirirwa wabula nga tebafunye bwenkanya…

Read More

Okusasula Zakati El-fitr kitukuza ekisiibo

Nga abayisiraamu basemberera okukuza Eid ,abaddu ba Allah bonna bakubiriziddwa okwetegeka okusasula Zakat Fitr nga tebanasaala Eid. Omuteeko guno gusasulibwa ku nkomerero y’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan. Imam w’omuzikiti gwa Old Kampala  Sheikh Imran Ssali agambaokuwaayo kuno kutukuza ekisiibo ky’omusiibi n’okusangula ebisobye mu kiseera ky’okusiiba. Zakat fitr esasulibwa mu kipimi ekigerekeddwa mu mmere omuntu gy’abadde asinga okusiibulukukirako mu kiseera…

Read More

Aba NRM batandise okukima foomu

Abakulira ekibiina kya  National Resistance Movement bakuddamu okugaba  foomu eri abo  bonna abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu kibiina. Ebifo ebiriwo mu kiseera kino kuliko abaagala okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti,loodi meeya, saako n’ebifo ebirala. Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong agamba foomu zino zisobola okufunibwa okuva ku kitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo okuva ku ssaawa 3…

Read More